Leviticus 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'ekitone kyonna eky'obuwunga ekifumbibwa mu kyoto, oba ekisiikibwa ku lusaniya oba ku luggyo, kiriba kya kabona oyo abeera akiweerezza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaafumbibwanga mu oveni n’ekyo kyonna ekinaateekerwateekerwanga ku fulampeni oba ku lukalango, kabona oyo akiwaddeyo y’anaakitwalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byonna ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kitone ekiweebwayo eky'obuwunga, ekifumbibwa nga kivumbikiddwa mu kyoto, oba ekisiikibwa mu ntamu, oba ekikalirirwa ku lusaniya, kinaatwalibwanga kabona akikozeeko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byonna ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo.