Leviticus 8:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'addira omuzigo ogusiiga, n'asiiga Ekisulo na buli kyonna ekyamu, n'abitukuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’addira amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, n’agakozesa okwawula Weema ya Mukama, ne byonna ebibeeramu nabyo n’abyawula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'addira amafuta, n'agafuka ku Weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'addira omuzigo ogusiigibwa, n'agusiiga ku Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ne ku bintu byonna ebigirimu, n'abitukuza okubyawulira Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'addira amafuta ag'okufukako, n'agafuka ku weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza.