Leviticus 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuzigo ogumu n'agumansira ku mwaliiro emirundi musanvu, n'agusiiga, n'ebigukolako byonna, n'ekinaabirwamu ne kwe kituula; byonna n'abisiiga omuzigo okubitukuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amansira agamu ku mafuta ku kyoto emirundi musanvu, n’ayawula ekyoto ne byonna ebikozesebwako, n’ebbensani ne mw’etuula, okubitukuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amansirako ne ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu, n'entobo yaakyo, okubitukuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atoola ku muzigo, n'agumansira emirundi musanvu ku alutaari ne ku bintu byayo byonna, ne ku bbenseni ne ku kikondo kyayo, okubitukuza okubyawulira Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amansirako ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu n'entobo yaakyo, okubitukuza.