Leviticus 8:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agitta, n'addira ku musaayi gwayo, n'olugalo lwe n'agusiiga ku mayembe g'omwaliiro okugutukuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’agitta, n’addira omusaayi gwayo n’agusiiga n’olugalo lwe ku mayembe ag’oku kyoto okukyebungulula, n’atukuza ekyoto. Omusaayi ogwasigalawo n’aguyiwa wansi w’ekyoto, n’akitukuza, okukitangiririra.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agitta; Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ku enjuyi zonna, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitangirira okukitukuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agitta, n'atoola ku musaayi, n'agusiigisa engalo ye ku mayembe g'alutaari ku njuyi zaayo zonna okugyawulira Mukama. Omusaayi gwonna ogusigaddewo, n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari. Bw'atyo n'agyawulira Mukama era n'addaabiriza ku lwayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agitta: Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna n'engalo ye, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitukuza, okukitangirira.