Leviticus 8:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusaayi ogwasigalawo n'aguyiwa wansi w'omwaliiro, n'agufuula mutukuvu ng'addaabiriza ku lwagwo. Musa n'addira amasavu agaali ku byenda, olububi lw'oku kibumba, n'ensigo zombi n'ebigenderako n'abyokera ku mwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’addira amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, byonna n’abyokera ku kyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'abyokera ku kyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'addira amasavu gonna agali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'abyokera byonna ku alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, Musa n'agookera ku kyoto.