Leviticus 8:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ente ennume, eddiba lyayo, ennyama n'obusa n'abyokera ebweru w'olusiisira mu muliro, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye seddume, n’eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’obusa bwayo, n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ennyama esigaddewo, n'eddiba, n'obusa n'abyokera ebweru w'olusiisira nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ente yonna esigaddewo: eddiba, n'ennyama, n'ebyenda, n'abyokya omuliro wabweru w'olusiisira, nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ente n'eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'obusa bwayo n'abyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yalagira Musa.