Leviticus 8:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endiga n'agitemaatema ebifi; ebyo, omutwe, ennyingo n'amasavu n'abyokya ku muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo endiga ng’ewedde okusalwasalwa mu bifi, Musa n’ayokya ebifi ebyo n’omutwe gwayo n’amasavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'asala mu ndiga ebitundu byayo; omutwe, n'ebitundu, n'amasavu n'abyokya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'asala mu ndiga ebitundu, n'ayoza n'amazzi ebyenda n'amagulu, n'ayokera omutwe n'amasavu n'ebitundu byonna eby'endiga ku alutaari, nga Mukama bwe yamulagira. Kino kye kitone ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa, ekiwunyira obulungi Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asala mu ndiga ebitundu, byayo; Musa n'ayokya omutwe, n'ebitundu, n'amasavu.