Leviticus 8:21 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayoza n'amazzi ebyenda n'ebigere; olwo endiga yonna n'agyokera ku mwaliiro. Kyali ekitambiro ekyokye, akawoowo akasanyusa, ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyenda n’amagulu nga biwedde okunaazibwa n’amazzi, Musa n’alyoka ayokya endiga yonna ku kyoto. Ekyo nga kye kiweebwayo ekyokye eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweerwayo ku muliro eri Mukama, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'anaaza n'amazzi ebyenda n'amagulu gaayo. Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto; yali kiweebwayo ekyokebwa olw'evvumbe eddungi; yali kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'anaaza ebyenda n'amagulu n'amazzi Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto: yali kiweebwayo ekyokebwa olw'evvumbe eddungi: yali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa.