Leviticus 8:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agitta, n'addira ku musaayi gwayo n'agussa ku kasammambiro k'okutu kwa Aroni okwa ddyo ne ku kyalakisajja ey'omukono ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja ku ddyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’alyoka agitta, n’addira ku musaayi gwayo n’agusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu eky’engalo ye ey’omukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu okwa ddyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agitta; n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwe okwa ddyo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agitta, n'addira ku musaayi, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Arooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kyalakisajja eky'ekigere kye ekya ddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agitta; Musa n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo,