Leviticus 8:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'azzaako batabani ba Aroni, n'addira ku musaayi ogw'akaliga akatambiddwa n'agussa ku kasammambiro k'okutu kwa buli omu, ne ku kyalakisajja ow'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere kye ekisajja ekya ddyo. Musa n'amansira omusaayi ku mwaliiro okugwetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Alooni nabo ne baleetebwa, Musa n’asiiga omusaayi ku busongezo bw’amatu gaabwe aga ddyo, ne ku binkumu eby’engalo zaabwe ez’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere ebisajja eby’amagulu gaabwe aga ddyo. Musa n’addira omusaayi n’agumansira buli wantu ku kyoto okukyebungulula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga omusaayi ku nsonda y'amatu gaabwe aga ddyo, ne ku bigere ebisajja eby'amagulu gaabwe aga ddyo, n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aleeta batabani ba Arooni, n'asiiga omusaayi ogumu ku nsonda z'amatu gaabwe aga ddyo, ku binkumu by'emikono gyabwe egya ddyo, ne ku byalabisajja eby'ebigere byabwe ebya ddyo. Omusaayi ogwasigalawo n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga ku musaayi ku nsonda y'okutu kwabwe okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono gwabwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.