Leviticus 8:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addira amasavu, ekikira, amasavu gonna agabikka ebyenda, olububi olw'oku kibumba, ensigo zombi ko amasavu gaako, ssaako ekisambi ekya ddyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addira amasavu n’omukira ogwo omusava, n’amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, n’ekisambi ekya ddyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addira amasavu, n'omukira omusava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'okukibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addira amasavu, n'omukira ogwassava, n'amasavu gonna ag'oku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addira amasavu, n'omukira ogwa ssava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo: