Leviticus 8:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne mu kisero ky'emigaati egitazimbulukuse egyali mu maaso g'Omukama, n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukuse, ne kkeeki enfumbe n'omuzigo, n'akagaati ak'oluwewere, n'abissa ku biri eby'amasavu n'ekisambi ekya ddyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’alaba mu kibbo omubeera emigaati egitali mizimbulukuse egibeera mu maaso ga Mukama Katonda, n’aggyamu akagaati kamu akatali kazimbulukuse, n’akagaati akaakolebwa n’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere kamu, n’abiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukusiddwa ekyali mu maaso ga Mukama, n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukusiddwa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'atoola n'omugaati gumu mu kibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, egiweebwayo eri Mukama, n'omugaati gumu ogutabuddwamu omuzigo, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukuswa ekyali mu maaso ga Mukama n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukuswa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo: