Leviticus 8:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
byonna n'abissa mu ngalo za Aroni n'eza batabani be. N'abiwuubira mu maaso g'Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ebyo byonna n’abikwasa Alooni ne batabani be mu ngalo zaabwe, ne babiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
byonna n'abiteeka mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Byonna n'abikwasa Arooni ne batabani be, ne babiwuuba, ne biba ekiweebwayo nga kiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ateeka byonna mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.