Leviticus 8:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate Musa n'abibaggya mu ngalo zaabwe n'abyokera ku mwaliiro kungulu ku kitone eky'ekitambiro ekyokye ng'ekitone eky'okuwa obwakabona, akawoowo akasanyusa, ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ebyo byonna n’abibaggyako, n’abyokera ku kyoto awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda eky’okwawulibwa, ekyokebwa mu muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa; byali bya kwawula olw'evvumbe eddungi, kyali kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku alutaari, ku kiweebwayo ekyokebwa, ekiweereddwayo olw'omukolo ogw'okwawula. Kino kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiwunyira obulungi Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa: byali bya kwawula olw'evvumbe eddungi: byali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.