Leviticus 8:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addira ekifuba, gwe mugabo gwa Musa ku ndiga ennume ey'omukolo ogw'okuwa obwakabona, n'akiwuubira Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Musa n’addira ekifuba n’akiwuubawuuba, nga kye kiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa. Guno nga gwe mugabo gwa Musa ku ndiga ennume ey’okwawulibwa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'akwata ekifuba, n'akiwuuba, kibe ekiweebwayo nga kiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Ogwo gwe gwali omugabo gwa Musa ku ndiga ey'omukolo ogw'okwawula, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yalagira Musa.