Leviticus 8:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naddira omuzigo ogusiiga n'omusaayi okuva ku mwaliiro, n'amansira ku Aroni n'ebyambalo bye ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw'atyo n'atukuza Aroni n'ebyambalo bye, ne batabani be n'ebyambalo byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'atoola ku mafuta ag'okutukuza, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo byabwe; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be n'ebyambalo byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'atoola ku muzigo ogusiigibwa, ne ku musaayi ogwali ku alutaari, n'abimansira ku Arooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw'atyo n'ayawulira Mukama Arooni ne batabani be, era n'ebyambalo byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'atoola ku mafuta ag'okufukako, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be awamu naye; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be awamu naye.