Leviticus 8:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo n'alagira Aroni ne batabani be nti: “Mufumbe ennyama awo ku mulyango gwa Weema era mugiriire awo, n'emigaati egy'ekitambiro eky'okuwa obwakabona egiri mu kisero mugirye nga bwe nalagira nti: ‘Aroni ne batabani be bagiryanga.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’agamba Alooni ne batabani be nti, “Ennyama mugifumbire awo ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, era awo we muba mugiriira awamu n’emigaati egiri mu kibbo omuli ebiweebwayo olw’okwawulibwa, nga bwe nabalagira nga ŋŋamba nti, ‘Alooni ne batabani be baligirya.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti, “Mufumbire ennyama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu; mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagirwa nti, ‘Alooni n'abaana be be banaabiryanga.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Arooni ne batabani be nti: “Mutwale ennyama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, mugifumbe era mugiriire eyo, n'emigaati egiri mu kibbo eky'ebitone eby'omukolo ogw'okwawula, nga Mukama bwe yandagira nti Arooni ne batabani be bagiryanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti Mufumbire ennyama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagira nga njogera nti Alooni n'abaana be banaabiryanga.