Leviticus 8:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temuvanga ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano okumala ennaku musanvu okutuusa ng'obudde obw'okubawa obwakabona buweddeko; okubawa obwakabona kunaamalanga ennaku musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era temufulumanga okuva ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ng’ennaku zammwe ez’okwawulibwa zituukiridde, kubanga okubaawula kugenda kumala ennaku musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So temufulumanga mu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe ziriggwaako; kubanga alibaawulira ennaku musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temujja kuva ku mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, okumala ennaku musanvu, okutuusa emikolo egy'okwawulibwa kwammwe lwe girimalirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temufulumanga mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe zirituukirira: kubanga alibaawulira ennaku musanvu.