Leviticus 8:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekikoleddwa olwa leero Omukama ye yakiragira, kibeere okuddaabiriza ku lwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda alagidde nti nga bwe kikoleddwa leero bwe kinaakolebwanga bwe kityo okubatangiririra.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe kikoleddwa leero, bw'atyo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yatulagira okukola ebyo bye tukoze olwaleero, olw'okuggyawo ebibi byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe kikoleddwa leero, bw'atyo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira.