Leviticus 8:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musigale ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano emisana n'ekiro okumala ennaku musanvu nga mutuukiriza Omukama bye yakuutira, lwe mutaafe: kubanga ekyo kye kyandagirwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu emisana n’ekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo Mukama by’abalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanvu emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa; kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muteekwa okusigala ekiro n'emisana ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, okumala ennaku musanvu, okutuukiriza ekiragiro kya Mukama, muleme kufa, kubanga bw'atyo Mukama bwe yandagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanvu emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.