Leviticus 8:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'akola ng'Omukama bwe yali alagidde. Awo ekibiina kyonna ne kikuŋŋaanira ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira; abantu ne bakuŋŋaanira mu kibiina kinene ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. Ekibiina ky'abantu ne kikuŋŋaanira ku mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.