Leviticus 8:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni n'amwambaza ekkanzu, n'amusiba omusipi, n'amwambaza omunagiro, n'amussaako kungulu efodi, n'agimusibirako n'enywera n'ekimyu ky'efodi ekiruke n'obukugu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayambaza Alooni ekkooti, n’amusiba olwesibyo, n’amwambaza omunagiro, n’amwambaza n’ekyambalo ekya efodi, n’amusibya olwesibyo lwa efodi olwalukibwa n’amagezi amangi, n’amunyweza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayambaza Alooni ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amussaako omunagiro, n'amwambaza ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olukoba olwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayambaza Arooni essaati n'ekkanzu, n'amusiba olukoba mu kiwato, n'amwambaza n'omunagiro, n'agusiba n'olukoba olwalukibwa obulungi, n'agunyweza mu kiwato kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amwambaza ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amwambaza omunagiro, n'amussaako ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olwo.