Leviticus 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'assa ettambaala ku mutwe gwe, eno mu maaso gaalyo n'assaako akapaapi aka zaabu okwoleddwa akabonero akatukuvu, ye ngule entukuvu, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amusiba ekitambaala ku mutwe, ne mu maaso ku kitambaala n’assaako ekipande ekya zaabu, nga ye ngule entukuvu, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amusiba ekiremba ku mutwe, era awo mu maaso gaakyo n'akisibako akapande aka zaabu, ye ngule entukuvu, nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amusiba ekiremba ku mutwe, era awo mu maaso gaakyo n'akisibako akapande aka zaabu, ye ngule entukuvu, nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amutikkira enkuufiira ku mutwe; ne ku nkuufiira, mu maaso gaayo, n'assaako ekipande ekya zaabu, engule entukuvu; nga Mukama bwe yalagira Musa.