Leviticus 9:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amasavu n'ensigo n'olububi olw'oku kibumba ebyava ku kitambiro olw'ekibi n'abyokera ku mwaliiro, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addira amasavu n’ensigo n’ebibikka ku kibumba eby’omu kiweebwayo olw’ekibi, n’abyokera ku kyoto, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye amasavu n'ensigo n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera ku kyoto; nga Mukama bwe yalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alyoka ayokera ku alutaari, amasavu, n'ensigo, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye amasavu n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera kn kyoto; nga Mukama bwe yalagira Musa.