Leviticus 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atta ekitone eky'ekitambiro ekyokye. Batabani be ne bamuleetera omusaayi gwakyo, n'agumansira ku mwaliiro okugwetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni n’atta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atta ensolo ey'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa. Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna.