Leviticus 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atambira ente n'endiga ennume ng'ekitambiro ky'abantu eky'okussa ekimu; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku mwaliiro okugwetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ente ya sseddume n’endiga ennume nazo n’azitta, nga bye biweebwayo olw’emirembe eby’abantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'atta ente n'endiga ennume, okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ku lw'abantu. Abaana be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atta ente n'endiga ennume, ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, kye yawaayo olw'abantu. Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'atta ente n'endiga ennume, ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, eyali ku bw'abantu: abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna,