Leviticus 9:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebifuba n'ebisambi ebya ddyo Aroni n'abiwuuba mu maaso g'Omukama nga Musa bwe yali alagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye ebifuba n’ekisambi ekya ddyo, Alooni n’abiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, nga Musa bwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni n'addira ebifuba n'ebisambi ebya ddyo n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama nga Musa bwe yalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'awaayo eri Mukama ebifuba n'amagulu aga ddyo, ng'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama, ebiba ebya bakabona, nga Musa bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebifuba n'ekisambi ekya ddyo Alooni n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; nga Musa bw'alagidde.