Leviticus 9:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni n'agololera emikono ku bantu n'abawa omukisa. Bwe yamala okuweereza ekitambiro olw'ekibi, ekitambiro ekyokye n'ekitambiro eky'okussa ekimu, n'akka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'akka ng'amaze okuwaayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiweebwayo olw'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni bwe yamala okuwaayo ebitambiro ebyo: ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'okutabagana, n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa. N'akka wansi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'aserengeta ng'amaze okuwaayo ekiI weebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.