Leviticus 9:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Musa ne Aroni ne bayingira mu Weema ey'Ensisinkano. Bwe baafuluma ne bawa abantu omukisa. Ekitiibwa ky'Omukama ne kirabikira abantu bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu, bwe baafuluma, ne basabira abantu omukisa; awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne Arooni ne bayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bwe baafuluma, ne basabira abantu omukisa, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, ne bafuluma, ne basabira abantu omukisa: awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.