Leviticus 9:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyabaawo, omuliro ne guva ew'Omukama, ne gusenkenya ekitambiro ekyokye n'amasavu ebyali ku mwaliiro. Ekibiina bwe kyakiraba, ne baleekaana n'essanyu, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ng’amaaso gaabwe gali ku ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu; awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu, ne bavuunama amaaso gabwe okuwa Katonda ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago Mukama n'asindika omuliro, ne gwokera ku alutaari ekiweebwayo ekyokebwa era n'amasavu. Abantu bwe baagulaba, bonna ne baleekaana, ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu: awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu ne bavuunama amaaso gaabwe.