Leviticus 9:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli obagambe nti: ‘Muddire embuzi ennume ey'ekitambiro olw'ekibi n'akayana n'akaliga, byombi nga bya mwaka gumu, ebitaliiko kamogo eby'ekitambiro ekyokye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’omwana gw’endiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti, ‘Mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, eziwezezza omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ogambe Abayisirayeli, batwale embuzi ennume, ebe ekiweebwayo olw'ekibi, n'ennyana ey'omwaka ogumu, n'omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, zombi ezitaliiko kamogo, zibe ekiweebwayo ekyokebwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, ezaakamaze omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;