Leviticus 9:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ko ente n'endiga ennume olw'ekitambiro eky'okussa ekimu, mubitambire mu maaso g'Omukama, wamu n'ekitone eky'obuwunga ekitabuddwamu omuzigo, kubanga olwa leero Omukama ajja kubalabikira.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’ente eya sseddume n’endiga ennume eby’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero Mukama Katonda ajja kubalabikira.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe, okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta; kubanga leero Mukama anaabalabikira.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ente n'endiga ennume zibe ekiweebwayo olw'okutabagana, babitambire mu maaso ga Mukama, awamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, ekitabuddwamu omuzigo. Bakole bwe batyo, kubanga Mukama anaabalabikira olwaleero.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe, okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta: kubanga leero Mukama anaabalabikira.