Leviticus 9:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna Musa bye yabalagira ne babireeta mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano. Ekibiina kyonna ne kijja ne kiyimirira mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna Musa by'alagidde, ne babireeta mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Ekibiina kyonna ne kisembera, ne kiyimirira mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama.