Leviticus 9:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba nti: “Kino Omukama kye yalagidde mukole, ekitiibwa kye kiryoke kibalabikire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’alyoka abagamba nti, “Kino kye kyo Mukama Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya Mukama kijja kubalabikira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ayogera nti, “Bino Mukama bye yabalagira okukola; era ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba nti: “Mukama abalagidde okukola kino, era ekitiibwa kye kinaabalabikira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayogera nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira mukikole: n'ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira.