Leviticus 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate Musa n'agamba Aroni nti: “Sembera ku mwaliiro oweereze ekitambiro kyo olw'ekibi, n'ekitambiro ekyokye oddaabirize ku lulwo ne ku lw'abantu; weereza ekitambiro ky'ekibiina oddaabirize ku lwabwe ng'Omukama bwe yalagira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Sembera ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ebyonoono byo, n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, olyoke weetangiririre awamu n’abantu era oleete ekiweebwayo eky’abantu; obatangiririre; nga Mukama Katonda bwe yalagidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Alooni nti, “Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu; oweeyo ekiweebwayo eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba Arooni nti: “Sembera kumpi n'alutaari, oweeyo ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, oddaabirize ku lulwo ne ku lw'abantu. Waayo ekitone eky'abantu, oddaabirize ku lwabwe, nga Mukama bwe yalagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Alooni nti Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu: oweeyo ekitone eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira.