Luke 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo malayika w'Omukama n'amulabikira; yali ayimiridde ku ludda olwa ddyo olw'omwaliiro gw'obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika wa Mukama n’alabikira Zaakaliya, n’ayimirira ku luuyi olwa ddyo olw’ekyoto okwoterezebwa obubaane!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo malayika wa Mukama n'amulabikira ng'ayimiridde ku luuyi olwa ddyo olw'ekyoto eky'okwotereezaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika wa Mukama n'ayimirira ku ludda olwa ddyo olw'ekyoterezo ky'obubaane, n'alabikira Zakariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo malayika wa Mukama n'amulabikira ng'ayimiridde ku luuyi olwa ddyo olw'ekyoto eky'okwoterezaako.