Luke 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika n'amugamba nti: “Zakariya, leka kutya, kubanga essaala zo ziwuliddwa, ne Elizabeti mukazi wo ajja kukuzaalira omwana ow'obulenzi n'omutuuma erinnya lye Yowanna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye malayika n’amugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye malayika n'amugamba nti, “ Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yokaana.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika n'amugamba nti: “Zakariya, leka kutya, kubanga Katonda awulidde okwegayirira kwo: mukazi wo Elisaabeeti alikuzaalira omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye Yowanne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye malayika n'amugamba nti Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yokaana.