Luke 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga aliba mukulu mu maaso g'Omukama; talinywa vviini, newandibadde buli ekitamiiza kyonna, era alijjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu ng'akyali na mu lubuto lwa nnyina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ng’akyali mu lubuto lwa nnyina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama, so talinywa mwenge newakubadde ekitamiiza; era alijjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, okuva mu lubuto lwa nnyina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama. Talinywa mwenge gwa mizabbibu, newaakubadde ekitamiiza ekirala kyonna. Alijjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu nga tannaba kuva mu lubuto lwa nnyina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama, so talinywa mwenge newakubadde ekitamiiza; era alijjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, okuva mu lubuto lwa nnyina.