Luke 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era y'alimukulemberamu mu mwoyo ne mu maanyi ebya Eliya, emitima gya bakitaabwe alyoke agizze ku baana baabwe, n'abatawulira abazze mu magezi g'abatuukirivu, bw'atyo Omukama amussizeewo abantu abeetegefu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, n’akyusa emitima gy’aba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, n’okukyusa emitima gy’abajeemu okudda eri amagezi g’abatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama mu Mwoyo n'amaanyi nga Eriya okukomyawo emitima gya bajjajja eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu okumulindirira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliweebwa omwoyo n'obuyinza nga Eliya bye yalina, n'akulembera Mukama okuzza emitima gya bakitaabwe b'abaana eri abaana baabwe, n'okuzza abajeemu mu kkubo ly'abantu abalungi, alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alikulembera mu maaso ge: mu mwoyo n'amaanyi ga Eriya okukomyawo emitima gya bajjajja eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu abateekebwateekebwa.