Luke 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zakariya n'agamba malayika nti: “Ekyo nnaakitegeerera ku ki? Anti ndi mukadde, ne mukazi wange ayise mu myaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zaakaliya n’agamba malayika nti, “Ekyo nnaakimanya ntya? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange naye akaddiya nnyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zaakaliya n'agamba malayika nti, “ Nnaakimanya ntya ekyo? Kubanga nze ndi mukadde ne mukazi wange naye akaddiye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zakariya n'agamba nti: “Kino nnaakikakasiza ku ki? Nze neekaddiyidde, ne mukyala wange naye akaddiye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zaakaliya n'agamba malayika nti Nnaakimanya ntya ekyo? kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange akaddiye mu myaka gye.