Luke 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika n'ayanukula nti: “Nze Gaburyeli, ayimirira mu maaso ga Katonda; nsindikiddwa njogere naawe, nkubuulire amawulire amalungi ago.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika n’amugamba nti, “Nze Gabulyeri ayimirira mu maaso ga Katonda, era y’antumye okwogera naawe n’okukuleetera amawulire gano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo malayika n'addamu n'amugamba nti, “ Nze Gabulyeri, ayimirira mu maaso ga Katonda; era nnatumibwa okwogera naawe n'okukubuulira ebigambo ebyo ebirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika n'amuddamu nti: “Nze Gabulyeli, ayimirira bulijjo mu maaso ga Katonda nga mmuweereza. Ntumiddwa okwogera naawe, n'okukutegeeza amawulire gano amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo malayika n'addamu n'amugamba nti Nze Gabulyeri, ayimirira mu maaso ga Katonda; era nnatumibwa okwogera naawe n'okukubuulira ebigambo ebyo ebirungi.