Luke 1:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ojja kusirika nga tosobola kwogera, okutuusa ku lunaku ebyo lwe birituukirira, kubanga tokkirizza bigambo byange ebirituukirira mu budde bwabyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’okuba nga tokkirizza bigambo byange, ojja kuziba omumwa, era togenda kuddamu kwogera okutuusa ng’ebintu ebyo bimaze okubaawo. Kubanga ebigambo byange byonna birimala kutuukirira mu kiseera kyabyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, olisirika era nga toyinza kwogera, okutuusa ku lunaku bye nkugambye lwe biribaawo, kubanga tokkirizza bigambo byange, ebirituukirizibwa mu ntuuko zaabyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno nga bw'otokkirizza bye nkutegeezezza, ebirituukirira ng'ekiseera kyabyo kituuse, ojja kuziba omumwa, obe nga tokyasobola kwogera, okutuusa ku lunaku bino lwe birituukirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, olisirika era nga toyinza kwogera, okutuusa ku lunaku lwe biribaawo ebyo, kubanga tokkirizza bigambo byange, ebirituukirizibwa mu ntuuko zaabyo.