Luke 1:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yafuluma, n'alemwa okwogera gye bali; ne bategeera nga waliwo ekimulabikidde mu Kiggwa; n'aye yennyini yagezaako okukibategeeza mu bubonero, n'asigala atyo nga kasiru.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma ennyo bwe yavaayo, yali tasobola kwogera nabo, ne bategeera nga mu Yeekaalu afuniddeyo okwolesebwa. N’asigala ng’azibye omumwa naye ng’abategeeza mu bubonero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yafuluma n'atayinza kwogera nabo: ne bategeera nti alabye okwolesebwa mu Yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono kubanga yali azibye omumwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yafuluma n'atasobola kwogera nabo, ne bamanya nti wabaddewo ekitali kya bulijjo ky'alabye mu Ssinzizo. Olw'obutasobola kwogera, n'abategeeza mu bubonero, n'asigala ng'azibye omumwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yafuluma n'atayinza kwogera nabo: ne bategeera nti alabye okwolesebwa mu yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono ng'akyasiruwadde.