Luke 1:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama bw'ankoze ati mu nnaku ze yantekerako eriiso okunzigyako okuswala kwe mbadde nakwo mu bantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nti, “Mukama nga wa kisa kingi, kubanga anziggyeeko ensonyi olw’obutaba na mwana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'atyo Mukama bw'ankoze mu nnaku ze yantunuuliriramu n'anzijako ensonyi mu bantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama ye annyambye okuba bwe nti, n'ankwatirwa ekisa mu kiseera kino, n'anzigyako okuswala kwe mbadde nakwo mu bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Mukama bw'ankoze mu nnaku ze yantunuuliriramu okunziyako ensonyi mu bantu.