Luke 1:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwezi ogwomukaaga, malayika Gaburyeli Katonda n'amutuma mu kibuga ky'e Galilaaya, erinnya lyakyo Nazareti,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwezi ogw’omukaaga, Katonda n’atuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwezi ogw'omukaaga Katonda n'atuma malayika Gabulyeri mu kibuga eky'e Ggaliraaya erinnya lyakyo Nazaaleesi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisaabeeti yali yaakamala emyezi mukaaga ng'ali lubuto, Katonda n'atuma malayika Gabulyeli mu kibuga eky'e Galilaaya, erinnya lyakyo Nazaareeti,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwezi ogw'omukaaga malayika Gabulyeri n'atumibwa Katonda mu kibuga eky'e Ggaliraaya erinnya lyakyo Nazaaleesi,