Luke 1:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ew'omuwala embeerera eyali ayogerezeddwa omusajja ow'omu kika kya Dawudi, erinnya lye Yozefu, ate erinnya ly'omuwala embeerera nga ye Mariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, ow’omu lulyo lwa Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eri omuwala atamanyi musajja, erinnya lye Malyamu, eyali ayogerezebwa omusajja, erinnya lye Yusufu ow'omu nnyumba ya Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ew'omuwala embeerera, erinnya lye Mariya, eyali ayogerezebwa omusajja ayitibwa Yosefu, muzzukulu wa Ssekabaka Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eri omuwala atamanyi musajja eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu ow'omu nnyumba ya Dawudi; n'erinnya ly'omuwala Malyamu.