Luke 1:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika bwe yayingira gy'ali, n'amugamba nti: “Mirembe, ggwe eyagirirwa ekisa, Omukama ali naawe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Gabulyeri n’alabikira Maliyamu n’amulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Malayika najja gyali, n'amugamba nti, “ Mirembe ggwe aweereddwa ennyo ekisa, Mukama ali naawe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika bwe yatuuka w'ali, n'agamba nti: “Nkulamusa, ggwe aweereddwa omukisa; Mukama ali naawe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayingira omumwe, n'agamba nti Mirembe ggwe aweereddwa ennyo ekisa, Mukama ali naawe.