Luke 1:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yawulira, n'asoberwa nnyo olw'ebigambo ebyo, n'alowooza ennamusa eyo bw'ebadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Maliyamu n’atya, n’abulwa n’ekyokwogera, ng’okulamusa okwo kumutabudde, nga n’amakulu gaakwo tagategeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Malyamu ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mariya ne yeeraliikirira nnyo olw'ebigambo ebyo, era ne yeebuuza mu mutima gwe kye bitegeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli.