Luke 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nange nno, ayi Omutiibwa Tewofilo, oluvannyuma lw'okwekenneenya obulungi ebintu byonna nga nviira ddala ku ntandikwa, njagadde mbikuwandiikire nga mbisengese,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu n’obwegendereza okuva ku by’olubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro ow’ekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo nange bwe nnaliraanyiza ddala byonna okuva ku lubereberye, ndabye nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro omulungi ennyo, byonna nga bwe byaliraana;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nange bwe neetegerezza byonna okuva ku ntandikwa yaabyo, ndabye nti kirungi okubikuwandiikira nga bwe biddiriŋŋana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo bwe nnaliraanyiza ddala byonna okuva ku lubereberye, era nange nnalaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe, Teefiro omulungi ennyo, nga bwe byaliraana;