Luke 1:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliba wa kitiibwa era aliyitibwa Mwana w'Oli Ali Waggulu Ddala; n'Omukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w'Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliba wa buyinza, era aliyitibwa Mwana wa Katonda Atenkanika. Mukama Katonda alimuwa obwakabaka bwa Dawudi jjajjaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w'Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe: